1ⓙ Mukama mmwagala, kubanga awulidde eddoboozi lyange nʼokwegayirira kwange.
2Kubanga ateze okutu kwe gye ndi, kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.
3Emiguwa gyʼokufa gyansiba, nʼokulumwa okwʼemagombe kwankwata; ne nzijula ennaku nnyingi nʼokutya.
4Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti, “Ayi Mukama, ndokola.”
5ⓚ Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Katonda waffe ajjudde okusaasira.
6Mukama alabirira abantu abaabulijjo; bwe nnali mu buzibu obunene, nʼandokola.
7Wummula ggwe emmeeme yange, kubanga Mukama abadde mulungi gyʼoli.
8Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa, nʼamaaso gange ogawonyezza okukaaba; nʼebigere byange nʼobiwonya okwesittala,
9ⓛ ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama mu nsi eyʼabalamu.
10ⓜ Nakkiriza kyennava njogera nti, “Numizibbwa nnyo.”
11ⓝ Ne njogera nga nterebuse nti, “Abantu bonna baliraba.”
12Mukama ndimusasula ntya olwʼebirungi bye ebingi bwe bityo byʼankoledde?
13Nditoola ekikompe ekyʼobulokozi, ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14ⓞ Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso gʼabantu be bonna.
15Okufa kwʼabatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16Ayi Mukama, onsumuluddeko ebyansiba nʼonfuula wa ddembe, nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.
17ⓟ Ndiwaayo ekiweebwayo ekyʼokwebaza, ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso gʼabantu be bonna,
19ⓠ mu mpya zʼennyumba ya Mukama; wakati wo, ggwe Yerusaalemi.