Zabbuli 118:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Mwebaze Mukama, kubanga mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

2Kale Isirayiri ayogere nti, “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”

3Nʼabʼennyumba ya Alooni boogere nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

4Abo abatya Mukama boogere nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

5 Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama, nʼannyanukula, nʼagimponya.

6 Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kyentya. Abantu bayinza kunkolako ki?

7Mukama ali nange, ye anyamba. Abalabe bange nnaabatunuuliranga nʼamaaso agʼobuwanguzi.

8 Kirungi okwesiga Mukama okusinga okwesiga omuntu.

9 Kirungi okuddukira eri Mukama okusinga okwesiga abalangira.

10Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula, naye mu linnya lya Mukama naziwangula.

11Banneebungulula enjuuyi zonna; naye mu linnya lya Mukama nabawangula.

12 Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ngʼenjuki; naye ne basirikka ngʼamaggwa agakutte omuliro; mu linnya lya Mukama nabawangula.

13Bannumba nʼamaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa; naye Mukama nʼannyamba.

14 Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange, afuuse obulokozi bwange.

15Muwulire ennyimba ezʼessanyu ezʼobuwanguzi, nga ziyimbirwa mu weema zʼabatuukirivu nti, “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!

16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa; omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”

17 Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu, ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama byʼakoze.

18 Mukama ambonerezza nnyo, naye tandese kufa.

19 Munzigulirewo emiryango egyʼobutuukirivu, nnyingire, neebaze Mukama.

20 Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama, abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.

21 Nkwebaza kubanga onnyanukudde nʼofuuka obulokozi bwange.

22 Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ekkulu eryʼoku nsonda.

23Kino Mukama ye yakikola; era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.

24Luno lwe lunaku Mukama lwʼakoze; tusanyuke tulujagulizeeko.

25Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole, Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.

26 Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama. Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.

27 Mukama ye Katonda, yʼatwakiza omusana. Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe nʼekiweebwayo kyammwe kituukire ddala ku mayembe gʼekyoto.

28 Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga; ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.

29Mwebaze Mukama kubanga mulungi, nʼokwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>