Zabbuli 119:1-176 LGCB2014 - Bible AI

1 Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu; abatambulira mu mateeka ga Mukama.

2 Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye, era abanoonya Mukama nʼomutima gwabwe gwonna.

3 Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.

4Ggwe wateekawo ebiragiro byo; nʼolagira bigonderwenga nʼobwegendereza bungi.

5Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo; nga nkuuma bye walagira.

6Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.

7Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu, nnaakutenderezanga nʼomutima omulungi.

8Nnaakwatanga amateeka go; Ayi Mukama, tonsuulira ddala.

9Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu? Anaalikuumanga ngʼagoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.

10 Nkunoonya nʼomutima gwange gwonna; tonzikiriza kuva ku mateeka go.

11 Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.

12Ogulumizibwe, Ayi Mukama; onjigirize amateeka go.

13Njatula nʼakamwa kange amateeka go gonna ge walagira.

14Nsanyukira okugondera ebiragiro byo, ngʼasanyukira ebyʼobugagga.

15Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo, ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.

16 Nnaasanyukiranga amateeka go, era siigeerabirenga.

17Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu, ngobererenga ekigambo kyo.

18Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba ebyʼekitalo ebiri mu mateeka go.

19Nze ndi muyise ku nsi; tonkisa bye walagira.

20Bulijjo emmeeme yange eyaayaanira amateeka go.

21Onenya abʼamalala, abaakolimirwa, abaleka amateeka go.

22Mponya okuduula kwabwe nʼokunyooma kwabwe; kubanga bye walagira mbigondera.

23Newaakubadde ngʼabalangira bansalira enkwe; naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.

24Amateeka go lye ssanyu lyange, era ge gannuŋŋamya.

25 Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu; nkusaba onzizeemu endasi ngʼekigambo kyo bwe kiri.

26 Nakutegeeza bye nteesezza okukola, nʼonnyanukula; onjigirize amateeka go.

27Njigiriza amateeka go bye gagamba, nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.

28Emmeeme empweddemu ensa olwʼokunakuwala; onzizeemu amaanyi ngʼekigambo kyo bwe kiri.

29Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu; olwʼekisa kyo njigiriza amateeka go.

30Nonzeewo okubeera omwesigwa; ntambulire mu ebyo bye walagira.

31Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama, tondeka kuswazibwa.

32Bwʼonoosumulula omutima gwange, nnaatambuliranga mu makubo go ngʼebiragiro byo bwe biri.

33 Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo; ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ezʼobulamu bwange.

34 Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go era ngakwate nʼomutima gwange gwonna.

35Ntambuliza mu mateeka go, kubanga mwe nsanyukira.

36 Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira; so si eri ebyʼokufuna ebitaliimu.

37 Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu; obulamu bwange obufuule obuggya ngʼekigambo kyo bwe kiri.

38 Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo, kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.

39Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya, kubanga ebiragiro byo birungi.

40Laba, njayaanira ebiragiro byo; onkomyewo mu butuukirivu bwo.

41Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama; ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;

42ndyoke mbeere nʼekyʼokwanukula abo abambonyaabonya; kubanga neesiga kigambo kyo.

43Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange; kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.

44Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna, emirembe nʼemirembe.

45 Era nnaatambulanga nʼemirembe, kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.

46 Era nnaayogeranga ku biragiro byo mu maaso ga bakabaka, nga sikwatibwa nsonyi.

47Kubanga nsanyukira amateeka go, era ngaagala.

48Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala. Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.

49Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo, kubanga gwe wampa essuubi.

50 Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.

51Abʼamalala banduulira obutamala, naye nze siva ku mateeka go.

52Bwe ndowooza ku biragiro byo ebyʼedda, Ayi Mukama, biwummuza omutima gwange.

53 Nkyawa nnyo abakola ebibi, abaleka amateeka go.

54Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.

55Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama, ne neekuuma amateeka go.

56Olwʼokukugonderanga nfunye emikisa gyo mingi.

57 Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama; nasuubiza okukugonderanga.

58Nkwegayirira nʼomutima gwange gwonna, ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.

59 Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte, ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.

60Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go, so seekunya.

61Newaakubadde ngʼemiguwa gyʼababi ginsibye, naye seerabirenga mateeka go.

62 Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza, olwʼebiragiro byo ebituukirivu.

63Ntambula nʼabo abakutya, abo bonna abakwata amateeka go.

64 Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo; onjigirize amateeka go.

65Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama, ngʼekigambo kyo bwe kiri.

66Njigiriza okumanya nʼokwawula ekirungi nʼekibi, era ompe okumanya; kubanga nzikiririza mu mateeka go.

67 Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo, naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.

68 Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi; onjigirize amateeka go.

69 Abʼamalala banjogeddeko nnyo ebyʼobulimba, naye nze nkwata ebyo bye walagira, nʼomutima gwange gwonna.

70 Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala; naye nze nsanyukira amateeka go.

71Okubonerezebwa kwangasa, ndyoke njige amateeka go.

72 Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi okusinga enkumi nʼenkumi eza ffeeza ne zaabu.

73 Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba, mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.

74Abo abakutya banandabanga ne basanyuka, kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.

75 Mmanyi, Ayi Mukama, ngʼamateeka go matukuvu, era wali mutuufu okumbonereza.

76Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse, nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.

77Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu; kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.

78 Abʼamalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kyenkoze. Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.

79Abo abakutya bajje gye ndi, abategeera amateeka go.

80Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go, nneme kuswazibwa!

81 Emmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ngʼeyaayaanira obulokozi bwo, essuubi lyange liri mu kigambo kyo.

82Ntunuulidde ebbanga ddene nʼamaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kwʼekisuubizo kyo; ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”

83 Newaakubadde nga nfuuse ngʼensawo eyʼeddiba, eya wayini eri mu mukka[25], naye seerabira bye walagira.

84 Ayi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi nga tonnabonereza abo abanjigganya?

85Abantu abʼamalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo; be bo abatagondera mateeka go.

86Amateeka go gonna geesigibwa; abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!

87Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno; naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.

88Olwʼokwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange, ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.

89 Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu, kya mirembe gyonna.

90Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna; watonda ensi era enyweredde ddala.

91 Amateeka go na buli kati manywevu; kubanga ebintu byonna bikuweereza.

92Singa nnali sisanyukira mu mateeka go, nandizikiridde olwʼobulumi bwe nalimu.

93Siyinza kwerabira biragiro byo; kubanga mu ebyo obulamu bwange mwʼobufuulidde obuggya.

94Ndi wuwo, ndokola, kubanga neekuumye bye walagira.

95Newaakubadde ngʼabakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza; naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.

96Ebintu byonna biriko we bikoma naye amateeka go tegakugirwa.

97 Amateeka go nga ngagala nnyo! Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.

98 Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange, kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.

99 Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna, kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.

100 Ntegeera okusinga abakadde; kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.

101Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu, nsobole okugondera ekigambo kyo.

102Sivudde ku mateeka go, kubanga ggwe waganjigiriza.

103 Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo! Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gwʼenjuki.

104Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera; kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.

105 Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange, era kye kimulisa ekkubo lyange.

106 Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza nga nnaakwatanga amateeka agʼobutuukirivu bwo.

107Nnumizibwa nnyo; nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ngʼekigambo kyo bwe kiri.

108 Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa; era onjigirize amateeka go.

109 Newaakubadde ngʼobulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala, naye seerabira mateeka go.

110Abakola ebibi banteze omutego, naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.

111 Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna; weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.

112Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo ennaku zonna ezʼobulamu bwange.

113Nkyawa abalina emitima egisagaasagana, naye nze njagala amateeka go.

114Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange; essuubi lyange liri mu kigambo kyo.

115 Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu, mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.

116 Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu; nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.

117Onnyweze ndyoke nfuuke owʼeddembe, era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.

118Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo; weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.

119 Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ngʼebisasiro; nze kyenva njagala ebyo bye walagira.

120 Nkankana nzenna nga nkutya, era ntya amateeka go.

121Nkoze ebyʼobwenkanya era ebyʼobutuukirivu; tondeka mu mikono gyʼabo abanjooga.

122 Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo, oleme kukkiriza ababi okunjooganga.

123Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo nʼebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.

124Nze omuddu wo nkolaako ngʼokwagala kwo bwe kuli; era onjigirize amateeka go.

125 Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi nʼekibi; ndyoke ntegeere ebiragiro byo.

126Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako kyʼokola, kubanga amateeka go gamenyeddwa.

127Naye nze njagala amateeka go okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.

128Kubanga mmanyi ngʼebiragiro byo byonna bituufu; nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.

129Ebiragiro byo bya kitalo; kyenva mbigondera.

130 Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana; nʼatategeera bulungi bimugeziwaza.

131Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja nga njaayaanira amateeka go.

132Nkyukira, onkwatirwe ekisa, nga bwʼokolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.

133 Oluŋŋamye ebigere byange ngʼekigambo kyo bwe kiri, era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.

134 Mponya okujooga kwʼabantu, bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.

135Ontunuulire, nze omuddu wo, nʼamaaso agʼekisa, era onjigirizenga amateeka go.

136 Amaziga gakulukuta mu maaso gange ngʼomugga, olwʼabo abatakwata mateeka go.

137 Oli mutuukirivu, Ayi Katonda, era amateeka go matuufu.

138Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu, era byesigibwa.

139 Nnyiikadde nnyo munda yange, olwʼabalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.

140Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo, kyenva mbyagala.

141Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.

142Obutuukirivu bwo bwa lubeerera, nʼamateeka go ga mazima.

143Newaakubadde nga ndi mu kulumwa nʼokutegana okungi, amateeka go ge gansanyusa.

144Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna; onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.

145Nkoowoola nʼomutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule! Nnaagonderanga amateeka go.

146Nkukaabirira, ondokole, nkwate ebiragiro byo.

147Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe; essuubi lyange liri mu kigambo kyo.

148 Seebaka ekiro kyonna nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.

149Olwʼokwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, ompe obulamu obuggya ngʼamateeka go bwe gali.

150Abo abʼenkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde, kyokka bali wala nʼamateeka go.

151Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange, era nʼamateeka go gonna ga mazima.

152 Okuva edda nʼedda nayiga mu biragiro byo, nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.

153 Tunuulira okubonaabona kwange omponye, kubanga seerabira mateeka go.

154 Ompolereze, onnunule, onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.

155Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala, kubanga tebanoonya mateeka go.

156Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama, onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.

157Abalabe abanjigganya bangi, naye nze siivenga ku biragiro byo.

158Nnakuwalira abo abatakwesiga, kubanga tebakwata biragiro byo.

159Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo! Onkuumenga ngʼokwagala kwo bwe kuli.

160Ebigambo byo byonna bya mazima meereere; nʼamateeka go ga lubeerera.

161 Abafuzi banjigganyiza bwereere, naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.

162Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana ngʼoyo afunye obugagga obungi.

163Nkyawa era ntamwa obulimba, naye amateeka go ngʼagala.

164Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu olwʼamateeka go amatuukirivu.

165 Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi; tewali kisobola kubeesittaza.

166 Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama, era mu biragiro byo mwe ntambulira.

167Ŋŋondera ebiragiro byo, mbyagala nnyo nnyini.

168 Buli kye nkola okimanyi, era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.

169Okukaaba kwange kutuuke gyʼoli, Ayi Mukama, ompe okutegeera ngʼekigambo kyo bwe kiri.

170Okwegayirira kwange kutuuke gyʼoli, onnunule nga bwe wasuubiza.

171Akamwa kange kanaakutenderezanga, kubanga gwʼonjigiriza amateeka go.

172Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo, kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.

173 Omukono gwo gumbeerenga, kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.

174Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama, era amateeka go lye ssanyu lyange.

175Ompe obulamu nkutenderezenga, era amateeka go gampanirirenga.

176 Ndi ngʼendiga ebuze. Onoonye omuddu wo, kubanga seerabidde mateeka go.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>