1Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Kisemirisi. Zabbuli ya Dawudi. ⓥ Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali nʼomu amanyi Katonda; abantu abeesigwa bonna baweddewo.
2Buli muntu alimba munne; akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.
3Mukama, osirise akamwa kʼabo bonna abeewaanawaana, na buli lulimi olwenyumiriza;
4Nga boogera nti, “Tujja kuwangula nʼolulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga nʼakamwa kaffe, kubanga ani alitukuba ku mukono.”
5Mukama ayogera nti, “Olwʼokujoogebwa kwʼabanafu, nʼolwʼokusinda kwʼabali mu bwetaavu, nnaasituka kaakano ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
6ⓦ Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima. Bigeraageranyizibwa nʼeffeeza erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto ekyʼebbumba.
7Ayi Mukama, tukwesiga ngʼonootukuumanga, nʼotuwonya abantu abali ngʼabo emirembe gyonna.
8Ababi beeyisaayisa nga bagulumiza ebitaliimu nsa.