Zabbuli 120:1-7 LGCB2014 - Bible AI

1Oluyimba nga balinnya amadaala Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku, era nʼannyanukula.

2Omponye, Ayi Mukama, emimwa egyʼobulimba, nʼolulimi olwʼobukuusa.

3Onooweebwa ki, era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?

4Onoofumitibwa nʼobusaale obwogi obwʼomulwanyi omuzira, nʼoyokerwa ku manda agʼomuti entaseesa.

5 Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki; nsula mu weema za Kedali!

6Ndudde nnyo mu bantu abakyawa eddembe.

7Nze njagala mirembe, naye bwe njogera bo baagala ntalo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>