1Oluyimba nga balinnya amadaala ⓩ Nnyimusa amaaso gange eri ensozi, okubeerwa kwange kuva wa?
2Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, eyakola eggulu nʼensi.
3ⓐ Taliganya kigere kyo kusagaasagana; oyo akukuuma taabongootenga.
4Laba, oyo akuuma Isirayiri taabongootenga so teyeebakenga.
5ⓑ Mukama ye mukuumi wo; Mukama yʼakusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
6Emisana enjuba teekwokyenga, wadde omwezi ekiro.
7ⓒ Mukama anaakukuumanga mu buli kabi; anaalabiriranga obulamu bwo.
8ⓓ Mukama anaakukumanga amagenda go nʼamadda, okuva leero nʼokutuusa emirembe gyonna.