1Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. ⓔ Nasanyuka bwe baŋŋamba nti, “Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
2Ebigere byaffe biyimiridde mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.
3ⓕ Yerusaalemi yazimbibwa okuba ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
4ⓖ Eyo ebika byonna gye biraga, ebika bya Mukama, okutendereza erinnya lya Mukama ngʼebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
5ⓗ Eyo entebe ezʼokusalirako emisango gye zaateekebwa; zʼentebe ezʼobwakabaka ezʼennyumba ya Dawudi.
6Musabirenga Yerusaalemi emirembe: Abo abakwagala bafune ebirungi.
7ⓘ “Emirembe gibeerenga munda wʼebisenge byo; nʼamayumba go amanene gabeerenga nʼomukisa era nga manywevu.”
8Olwa baganda bange ne mikwano gyange nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
9Olwʼobulungi bwʼennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.