Zabbuli 123:1-4 LGCB2014 - Bible AI

1Oluyimba nga balinnya amadaala. Nnyimusa amaaso gange gyʼoli, Ayi ggwe atuula ku ntebe eyʼobwakabaka mu ggulu.

2 Amaaso gʼabaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe; nʼamaaso gʼomuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we[26], nʼamaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe, okutuusa lwʼalitusaasira.

3Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire, kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.

4Emitima gyaffe gijjudde ennaku olwʼokuduulirwa abo abeeyagala, nʼokunyoomebwa abʼamalala.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>