1Oluyimba nga balinnya amadaala Abeesiga Mukama bali ngʼolusozi Sayuuni olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.
2Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi, ne Mukama bwʼatyo bwe yeetooloola abantu be, okuva kaakano nʼokutuusa emirembe gyonna.
3ⓞ Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira mu nsi yʼabatuukirivu, baleme okuwaliriza abatuukirivu okukola ebibi.
4Ayi Mukama, abalungi nʼabo abalina omutima omulongoofu bakolere ebirungi,
5ⓟ Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu, Mukama alibawaŋŋangusa wamu nʼabakola ebitali bya butuukirivu.