Zabbuli 127:1-5 LGCB2014 - Bible AI

1Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani Mukama bwʼatazimba nnyumba, abo abagizimba bazimbira bwereere. Mukama bwʼatakuuma kibuga, abakuumi bateganira bwereere.

2Oteganira bwereere bwʼokeera mu makya nʼokola, ate nʼolwawo nʼokwebaka ngʼokolerera ekyokulya; kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.

3 Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama; era abaana mpeera gyʼagaba okuva gyʼali.

4Ngʼobusaale bwe bubeera mu mukono gwʼomulwanyi, nʼabaana abazaalibwa mu buvubuka bwʼomuntu bwe bali bwe batyo.

5 Alina omukisa omuntu oyo ajjuzza ensawo ye nʼobusaale, kubanga tebaliswazibwa; balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>