Zabbuli 128:1-6 LGCB2014 - Bible AI

1Oluyimba nga balinnya amadaala Balina omukisa abatya Katonda; era abatambulira mu makubo ge.

2 Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo; oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.

3 Mu nnyumba yo, mukyala wo aliba ngʼomuzabbibu ogubala ennyo; abaana bo aboobulenzi baliba ngʼamatabi gʼemizeeyituuni nga beetoolodde emmeeza yo.

4Bwʼatyo bwʼaweebwa emikisa omuntu atya Katonda.

5 Mukama akuwenga omukisa ngʼasinziira mu Sayuuni, era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi ennaku zonna ezʼobulamu bwo.

6 Owangaale olabe abaana bʼabaana bo!

6Emirembe gibeere mu Isirayiri.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>