1Oluyimba nga balinnya amadaala ⓑ Isirayiri ayogere nti Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.
2Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange; naye tebampangudde.
3Newaakubadde ngʼomugongo gwange gujjudde enkovu olwʼembooko ze bankubye era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
4kyokka Mukama mutuukirivu; amenyeemenye enjegere zʼabakola ebibi.
5Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe era bazzibweyo emabega nga baswadde.
6ⓒ Babeere ngʼomuddo ogumera waggulu ku nnyumba[27], oguwotoka nga tegunnakula.
7Omukunguzi tagufaako, nʼoyo asiba ebinywa agunyooma.
8ⓓ Wadde abayitawo baleme kwogera nti, “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe. Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”