1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. ⓧ Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna? Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
2Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi, nʼokunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi? Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?
3ⓨ Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange; onzizeemu amaanyi nneme okufa.
4Si ku lwa ngʼomulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;” abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.
5Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka; era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
6Nnaayimbiranga Mukama, kubanga ankoledde ebirungi.