1Oluyimba nga balinnya amadaala ⓔ Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
2Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange; otege amatu go eri eddoboozi lyʼokwegayirira kwange.
3ⓕ Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe, ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4ⓖ Naye osonyiwa; noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
5ⓗ Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
6ⓘ Emmeeme yange erindirira Mukama; mmulindirira okusinga ngʼabakuumi bwe balindirira obudde okukya; okusingira ddala ngʼabakuumi bwe balindirira obudde okukya.
7ⓙ Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama, kubanga Mukama yʼalina okwagala okutaggwaawo; era yʼalina okununula okutuukiridde.
8ⓚ Mukama yʼalinunula Isirayiri nʼamuggya mu byonoono bye byonna.