Zabbuli 131:1-3 LGCB2014 - Bible AI

1Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Ayi Mukama siri wa malala, so nʼamaaso gange tegeegulumiza. Siruubirira bintu binsukiridde newaakubadde ebintu ebyʼekitalo ebinsinga.

2 Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza ngʼomwana bwʼasiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere. Omwana avudde ku mabeere nga bwʼasiriikirira, nʼemmeeme yange bwʼeri bwʼetyo.

3 Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama okuva leero nʼokutuusa emirembe gyonna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>