1Oluyimba nga balinnya amadaala Ayi Mukama jjukira Dawudi nʼokubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.
2ⓞ Nga bwe yalayirira Mukama, ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
3ngʼagamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange, wadde okulinnya ku kitanda kyange;
4ⓟ Sirikkiriza tulo kunkwata newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
5ⓠ Okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo; ekifo ekyʼokubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”
6ⓡ Laba, twakiwulirako mu Efulasa, ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
7ⓢ Kale tugende mu kifo kye mwʼabeera, tumusinzirize awali entebe yʼebigere bye.
8Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mwʼowummulira; ggwe nʼEssanduuko yo eyʼEndagaano, eraga obuyinza bwo.
9ⓣ Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu, nʼabatukuvu bo bayimbe nʼessanyu.
10Ku lulwe Dawudi omuddu wo, tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.
11ⓤ Mukama Katonda yalayirira Dawudi ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako. Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo gwe ndituuza ku ntebe yo eyʼobwakabaka.
12Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange nʼebiragiro byange bye nnaabayigirizanga, ne batabani baabwe nabo banaatuulanga ku ntebe yo eyʼobwakabaka emirembe gyonna.”
13Kubanga Mukama yalonda Sayuuni, nga kye yasiima okutuulangamu, nʼagamba nti:
14ⓥ “Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna; omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe eyʼobwakabaka kubanga nkisiimye.
15ⓦ Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa nʼebirungi, era nʼabaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
16ⓧ Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe; nʼabatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ezʼessanyu nʼessanyu.
17ⓨ Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza; ne muteekerawo ettabaaza olwʼoyo gwe nayiwako amafuta.
18ⓩ Abalabe be ndibajjuza ensonyi, naye ye ndimwambaza engule eyʼekitiibwa ekingi.”