1Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa, abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.
2Kiri ngʼamafuta agʼomuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni ne gakulukutira mu kirevu; gakulukutira mu kirevu kya Alooni, ne gakka ku kitogi kyʼebyambalo bye.
3Kiri ngʼomusulo gwʼoku lusozi Kerumooni, ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni; kubanga eyo Mukama gyʼagabira omukisa nʼobulamu emirembe gyonna.