1Mutendereze Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama. Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
2mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama, mu mpya zʼennyumba ya Katonda waffe.
3Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi; mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
4Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe; ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba ekyʼomuwendo.
5Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa, era nga Mukama oyo yʼasinga bakatonda bonna.
6Mukama kyonna kyʼasiima kyʼakola, mu ggulu ne ku nsi; mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
7Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero yʼensi; atonnyesa enkuba erimu okumyansa, nʼasumulula empewo okuva mu mawanika ge.
8Ye yakuba ababereberye abʼe Misiri; ababereberye bʼabantu nʼebibereberye byʼebisolo.
9Ye yaweereza obubonero nʼebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri, eri Falaawo nʼabaweereza be bonna.
10Ye yakuba amawanga amangi, nʼatta bakabaka abʼamaanyi era be bano,
11Sikoni kabaka wʼAbamoli, ne Ogi kabaka wʼe Basani ne bakabaka bonna abʼe Kanani.
12Ensi yaabwe nʼagiwaayo ngʼobusika, okuba obusika bwʼabantu be Isirayiri.
13Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera, era nʼobukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango, era alisaasira abaweereza be.
15Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza, ebyakolebwa nʼemikono gyʼabantu mu ffeeza ne zaabu,
16birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba;
17birina amatu naye tebiwulira; so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18Ababikola balibifaanana; na buli abyesiga alibifaanana.
19Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama; mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama; mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe; yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.