Zabbuli 136:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1Mwebaze Mukama kubanga mulungi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

2Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,

2kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

3Mwebaze Mukama wʼabafuzi,

3kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

4Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu,

4kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

5Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,

5kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

6Oyo eyabamba ensi ku mazzi,

6kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

7Oyo eyakola ebyaka ebinene,

7kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

8Enjuba yagikola okufuganga emisana,

8kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

9Omwezi nʼemmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,

9kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

10Oyo eyatta ababereberye bʼAbamisiri,

10kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

11Nʼaggya Isirayiri mu Misiri,

11kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

12Yabaggyamu nʼomukono gwe ogwʼamaanyi gwe yagolola;

12kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

13Oyo eyayawulamu amazzi gʼEnnyanja Emyufu,

13kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

14Nʼayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,

14kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

15Naye nʼasaanyaawo Falaawo nʼeggye lye mu Nnyanja Emyufu;

15kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

16Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu,

16kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

17Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,

17kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

18Nʼatta bakabaka abʼamaanyi,

18kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

19Ye yatta ne Sikoni, kabaka wʼAbamoli,

19kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

20Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,

20kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

21Nʼawaayo ensi yaabwe okuba obutaka,

21kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

22Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,

22kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

23Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,

23kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

24Nʼatuwonya abalabe baffe,

24kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

25Oyo awa abantu nʼebiramu byonna ekyokulya,

25kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

26Kale mwebaze Katonda wʼeggulu,

26kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>