1Zabbuli Ya Dawudi Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, nʼomutima gwange gwonna; ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
2Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu, ne ntendereza erinnya lyo olwʼokwagala kwo nʼolwʼobwesigwa bwo; kubanga wagulumiza ekigambo kyo nʼerinnya lyo okusinga ebintu byonna.
3Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula; nʼonnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.
4Bakabaka bonna abʼomu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama, nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
5Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama; kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.
6Newaakubadde nga Mukama asukkulumye, naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
7Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu, naye ggwe okuuma obulamu bwange; ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe, era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
8Mukama alituukiriza ebyo byʼanteekeddeteekedde; kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna. Tolekulira ebyo bye watonda.