Zabbuli 139:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, okebedde omutima gwange, nʼotegeera byonna ebiri munda yange.

2Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya; era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.

3Otegeera okutambula kwange kwonna nʼokuwummula kwange. Omanyi amakubo gange gonna.

4Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama, okimanya nga sinnaba na kukyogera.

5Ondi mu maaso nʼemabega, era ontaddeko omukono gwo.

6Okumanya okwʼengeri eyo kunsukkiridde, era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.

7Nnaagenda wa Omwoyo wo gyʼatali? Oba nnaagenda wa ggwe gyʼotoli?

8Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gyʼoli; bwe nnakka emagombe, nayo nga gyʼoli.

9Bwe nneebagala empewo ezʼoku makya ne zintwala ne mbeera mu bitundu byʼennyanja ebisinga okuba ewala;

10Era nʼeyo omukono gwo gunannuŋŋamya, omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.

11Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire, nʼobudde obwʼemisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”

12Naye era ekizikiza gyʼoli tekiba kizikiza, ekiro kyakaayakana ngʼemisana; kubanga gyʼoli ekizikiza nʼomusana bifaanana.

13Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze; ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.

14Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri eyʼentiisa era eyʼekitalo; emirimu gyo gya kyewuunyo; era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.

15Wammanya nga ntondebwa, bwe nakolerwa mu kyama; bwe natondebwa mu buziba bwʼensi nʼamagezi go amangi.

16Wandaba nga si natondebwa. Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera zawandiikibwa mu kitabo kyo.

17Byʼondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda! Omuwendo gwabyo munene!

18Singa ngezaako okubibala bisinga omusenyu obungi. Ne bwe ngolokoka mu makya oba okyandowoozaako.

19Abakola ebibi batte, Ayi Katonda; abasajja abassi bʼabantu banveeko.

20Abantu abo bakwogerako bibi; bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.

21Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa; abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.

22Mbakyayira ddala nnyo, era mbayita balabe bange.

23Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange. Ngezesa omanye ebirowoozo byange.

24Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu; era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>