1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Aboogera bwe batyo boonoonefu, bakola ebitasaana tekuli nʼomu ku bo akola kirungi.
2Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi ngʼasinziira mu ggulu, okulaba obanga mulimu mu bo ategeera, era abanoonya Katonda.
3ⓩ Naye bonna bakyamye boonoonese; teri akola kirungi, era teri nʼomu.
4ⓐ Abakola ebibi tebaliyiga? Kubanga bamalawo abantu bange ngʼabasaanyaawo ebyokulya; so tebakoowoola linnya lya Mukama.
5Balitya nnyo! Kubanga Katonda abeera wamu nʼabatuukirivu.
6Mulemesa entegeka zʼomwavu, songa Mukama kye kiddukiro kye.
7ⓑ Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni! Mukama bwʼalirokola abantu be, Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.