Zabbuli 140:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Ya mukulu wʼokuyimba. Zabbuli ya Dawudi. Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama, omponye abantu abakambwe;

2abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi; abanoonya entalo buli kiseera.

3Ebigambo byabwe byogi ngʼennimi zʼemisota; ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ngʼobwʼessalambwa.

4Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama; omponye abantu abakambwe abateesa okunkyamya.

5Abantu abʼamalala banteze omutego; banjuluzza ekitimba kyabwe; ne batega emitego mu kkubo lyange.

6Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.” Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!

7Ayi Mukama, Mukama wange, ggwʼomponya nʼamaanyi go, ggwe engabo yange mu lutalo,

8Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga, era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira; baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.

8

9Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe zibeekyusizeeko baboneebone.

10Amanda agaaka omuliro gabagwire; basuulibwe mu muliro, bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.

11Tokkiriza balimba kweyongera bungi; abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.

12Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, yʼayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.

13Abatuukirivu banaakutenderezanga, era wʼoli we banaabeeranga.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>