1Zabbuli Ya Dawudi Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi! Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
2Okusaba kwange kubeere ngʼebyakaloosa mu maaso go, nʼokugolola emikono gyange gyʼoli kubeere nga ssaddaaka eyʼakawungeezi.
3Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange, era bwe njogera onkomeko.
4Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi, nʼokwemalira mu bikolwa ebibi; nneme okwetaba nʼabantu abakola ebitali bya butuukirivu, wadde okulya ku mmere yaabwe.
5Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa; muleke annenye, ekyo kinaaba ngʼamafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange; sijja kugagaana. Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde nʼebikolwa byabwe.
6Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri abʼokubasalira omusango, olwo ne balyoka bayiga nti Ekigambo kya Katonda kya mazima.
7Balyogera nti, “Ngʼomuntu bwʼakabala nʼakuba amavuunike, nʼamagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa kʼemagombe.”
8Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda; mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!
9Nkuuma omponye omutego gwe banteze, nʼebitimba byʼabo abakola ebitali bya butuukirivu.
10Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babugwemu, kyokka nze mpone.