1Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku. Nkaabirira Mukama nʼeddoboozi eryʼomwanguka; neegayirira Mukama ansaasire.
2Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa, ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3Omwoyo gwange bwe gunnennyika, gwʼomanyi ekyʼokunkolera. Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera; sirina wa kwekweka, era tewali nʼomu anfaako.
5Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama, nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange, ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
6Owulire okukaaba kwange, kubanga njeezebwa nnyo! Mponya abanjigganya, kubanga bansinza nnyo amaanyi.
7Nziggya mu kkomera, ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.