Zabbuli 143:1-12 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli Ya Dawudi Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, wulira okwegayirira kwange! Ggwe omwesigwa era omutuukirivu jjangu ombeere.

2Tonsalira musango, kubanga mu maaso go tewali nʼomu atuukiridde.

3Omulabe wange angoba nʼankwata nʼansuula wansi; anteeka mu kizikiza ne nfaanana ngʼabaafa edda.

4Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi, nʼomutima gwange gwennyise.

5Nzijukira ennaku ezʼedda, ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna, ne ndowooza ku mirimu gyʼemikono gyo.

6Ngolola emikono gyange gyʼoli, ne nkuyaayaanira ngʼettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.

7Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama, kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi. Tonkisa maaso go, nneme okufaanana ngʼabafu.

8Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo; kubanga ggwe gwe neesiga. Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu, kubanga omwoyo gwange gwonna guli gyʼoli.

9Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange, kubanga ggwe kiddukiro kyange.

10Njigiriza okukola byʼoyagala, kubanga ggwe Katonda wange! Omwoyo wo omulungi ankulembere, antambulize mu kkubo eddungi eryʼomuseetwe.

11Olwʼerinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume, mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.

12Omalewo abalabe bange olwʼokwagala kwo, ozikirize nʼabanjigganya bonna, kubanga nze ndi muddu wo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>