1Zabbuli ya Dawudi Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange, atendeka emikono gyange okulwana, era ateekerateekera engalo zange olutalo.
2Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange, ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange. Ye ngabo yange mwe neekweka. Awangula amawanga nʼagassa wansi wʼebigere byange.
3Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako, oba omwana wʼomuntu, ggwe okumulowoozaako?
4Omuntu ali nga mukka. Ennaku ze ziri ngʼekisiikirize ekiyita obuyisi.
5Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke! Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
6Myansa abalabe basaasaane, era lasa obusaale bwo obazikirize.
7Ogolole omukono gwo ngʼosinziira waggulu ennyo, omponye, onzigye mu mazzi amangi, era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
8Abʼemimwa egyogera ebyʼobulimba, abalayira nti Kya mazima, so nga bulimba bwereere.
8
9Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya; nnaakukubiranga ennanga eyʼenkoba ekkumi,
10ggwe awa bakabaka obuwanguzi; amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.
11Ndokola, omponye onzigye mu mukono gwa bannamawanga bano abʼemimwa egyogera ebyʼobulimba, era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.
11
12Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama, babeere ngʼebisimbe ebikulidde ddala obulungi, ne bawala baffe babe ngʼempagi ennungi ezʼoku nsonda okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13Amawanika gaffe gajjule ebibala ebya buli ngeri. Endiga zaffe zizaale enkumi nʼobukumi zijjule amalundiro gaffe.
14Ente zaffe ziwalule ebizito. Ebisenge byʼekibuga bireme kumenyebwa. Waleme kubaawo kukaaba nʼokwaziirana kwonna mu nguudo ezʼomu bibuga byaffe.
15Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye! Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.