Zabbuli 145:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Oluyimba lwa Dawudi olwʼokutendereza. Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange; era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe nʼemirembe.

2Nnaakutenderezanga buli lunaku; era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe nʼemirembe.

3Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo, nʼobukulu bwe tebwogerekeka.

4Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo, era gunaatendanga emirimu gyo egyʼamaanyi.

5Nnaatendanga obukulu nʼobulungi bwʼekitiibwa kyo, era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.

6Abantu banaatendanga amaanyi gʼebikolwa byo ebyʼekitalo, nange nnaatendanga obukulu bwo obwʼekitiibwa.

7Banaayogeranga ku bulungi bwo obwʼekitalo nga bajaguza; era banaayimbanga olwʼobutuukirivu bwo.

8Mukama wa kisa, ajudde okusaasira, alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.

9Mukama mulungi eri buli muntu, era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.

10Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama; nʼabatukuvu bo banaakugulumizanga.

11Banaayogeranga ku kitiibwa kyʼobwakabaka bwo, era banaatendanga amaanyi go.

12Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo ebyʼamaanyi, nʼekitiibwa kyʼobukulu obwʼobwakabaka bwo.

13Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera, nʼobufuzi bwo bwa mirembe na mirembe. Mukama byʼayogera byonna bya bwesigwa, nʼebikolwa bye bijjudde okusaasira.

14Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa, era ayimusa bonna abagwa.

15Amaaso gʼabantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama, era bonna gwʼobawa ebyokulya mu biseera byabyo.

16Oyanjuluza engalo zo, ebiramu byonna nʼobigabira bye byetaaga ne bikkuta.

16

17Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna era ayagala byonna bye yatonda.

18Mukama abeera kumpi nʼabo bonna abamukoowoola; abo bonna abamukoowoola mu mazima.

19Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala, era awulira okukaaba kwabwe nʼabawonya.

20Mukama akuuma bonna abamwagala, naye abakola ebibi alibazikiriza.

21Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama, era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu emirembe nʼemirembe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>