Zabbuli 146:1-10 LGCB2014 - Bible AI

1Tendereza Mukama! Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

2Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ezʼobulamu bwange; nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.

3Teweesiganga bafuzi, wadde abantu obuntu omutali buyambi.

4Kubanga bafa ne bakka emagombe; ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.

5Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo; ngʼessuubi lye liri mu Mukama Katonda we,

6eyakola eggulu nʼensi nʼennyanja ne byonna ebirimu, era omwesigwa emirembe gyonna.

7Atereeza ensonga zʼabajoogebwa mu bwenkanya, nʼabalumwa enjala abawa ebyokulya. Mukama asumulula abasibe.

8Mukama azibula amaaso ga bamuzibe, era awanirira abazitoowereddwa. Mukama ayagala abatuukirivu.

9Mukama alabirira bannamawanga, era ayamba bamulekwa ne bannamwandu; naye ekkubo lyʼabakola ebibi alifaafaaganya.

9

10Mukama anaafuganga emirembe gyonna, Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

10Mutendereze Mukama!

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>