1Mutendereze Mukama! Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe; kubanga ajjudde ekisa, nʼoluyimba olwʼokumutenderezanga lumusaanira.
2Mukama azimba Yerusaalemi; era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
3Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese, era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
4Mukama ategeka omuwendo gwʼemmunyeenye; era buli emu nʼagituuma erinnya.
5Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi gʼobuyinza bwe tegatendeka, nʼokutegeera kwe tekuliiko kkomo.
6Mukama awanirira abawombeefu, naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.
7Muyimbire Mukama ennyimba ezʼokumwebaza; mumukubire entongooli ezivuga obulungi.
8Mukama abikka eggulu nʼebire, ensi agitonnyeseza enkuba, nʼameza omuddo ne gukula ku nsozi.
9Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.
10Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi, wadde mu magulu gʼomuntu,
11wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa, era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.
12Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi, tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza, nʼabantu bo abasulamu nʼabawa omukisa.
14Aleeta emirembe ku nsalo zo; nʼakukkusa eŋŋaano esinga obulungi.
15Aweereza ekiragiro kye ku nsi; ekigambo kye ne kibuna mangu.
16Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ngʼebyoya byʼendiga enjeru, nʼomusulo ogukutte nʼagusaasaanya ngʼevvu.
17Omuzira agukanyuga ngʼobuyinjayinja; bwʼaleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka; nʼakunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19Yategeeza Yakobo ekigambo kye; Isirayiri nʼamanya amateeka ga Mukama nʼebiragiro bye.
20Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bwʼatyo; amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.