Zabbuli 148:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Mutendereze Mukama! Mumutendereze nga musinziira mu ggulu, mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.

2Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be, mumutendereze mmwe mwenna eggye lye eryʼomu ggulu.

3Mmwe enjuba nʼomwezi mutendereze Mukama, nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.

4Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo, naawe amazzi agali waggulu wʼeggulu.

5Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama! Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.

6Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna, nʼateekawo etteeka eritaliggwaawo.

7Mumutendereze nga musinziira ku nsi, mmwe balukwata nʼebifo byonna ebyʼomu buziba bwʼennyanja,

8mmwe okumyansa, nʼomuzira ogwʼamakerenda, nʼomuzira ogukutte era nʼolufu, naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,

9mmwe agasozi nʼobusozi, emiti egyʼebibala nʼemivule;

10ensolo ezʼomu nsiko era nʼente zonna, ebyewalula nʼebinyonyi ebibuuka,

11bakabaka bʼensi nʼamawanga gonna, abalangira nʼabafuzi bonna abʼensi,

12Abavubuka abalenzi nʼabawala; abantu abakulu nʼabaana abato.

13Bitendereze erinnya lya Mukama, kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa; ekitiibwa kye kisinga byonna ebyʼomu nsi nʼebyʼomu ggulu.

14Abantu be abawadde amaanyi, era agulumizizza abatukuvu be, be bantu be Isirayiri abakolagana naye.

14Mutendereze Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>