Zabbuli 15:1-5 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Dawudi Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo? Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?

2 Oyo ataliiko kya kunenyezebwa, akola ebyʼobutuukirivu, era ayogera ebyʼamazima nga biviira ddala mu mutima gwe.

3 Olulimi lwe talwogeza bya bulimba, era mikwano gye tagiyisa bubi, so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.

4 Anyooma ababi, naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Atuukiriza kyʼasuubiza ne bwe kiba nga kimulumya.

5Bwʼawola tasaba magoba; so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna. Oyo akola ebyo aliba munywevu emirembe gyonna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>