Zabbuli 16:1-11 LGCB2014 - Bible AI

1Mukitamu ya Dawudi Onkuume, Ayi Katonda, kubanga ggwe buddukiro bwange.

2 Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange, ebirungi byonna bye nnina biva gyʼoli.”

3Abatukuvu abali mu nsi be njagala era mu bo mwensanyukira.

4Ennaku yʼabo abagoberera bakatonda abalala yeeyongera. Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ezʼomusaayi,[2] wadde okusinza bakatonda baabwe.

4

5Mukama, ggwe mugabo gwange, era ggwʼoliisa obulamu bwange; era ggwʼolabirira ebyange.

6Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa, ddala ddala omugabo omulungi.

6

7Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya ne mu kiro ayigiriza omutima gwange.

8 Nkulembeza Mukama buli kiseera, era ali ku mukono gwange ogwa ddyo, siinyeenyezebwenga.

8

9Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, nʼakamwa kange ne kajaguza; era nʼomubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.

10 Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe, wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda.

11 Olindaga ekkubo eryʼobulamu; wʼoli we wanaabanga essanyu erijjuvu, era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>