1Okusaba kwa Dawudi Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira, wuliriza okukaaba kwange. Tega okutu owulirize okukoowoola kwange, kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
2Nzigyako omusango; kubanga olaba ekituufu.
2
3ⓚ Weekenneenyezza omutima gwange era nʼonkebera nʼekiro. Ne bwʼonongezesa toobeeko kibi kyʼonsangamu; kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
4Ggwe, gwe nkoowoola, ngoberedde ebigambo byʼakamwa ko, ne neewala ebikolwa byʼabantu abakambwe.
5Nnyweredde mu makubo go, era ebigere byange tebiigalekenga.
5
6Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ngʼonnyanukula; ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
7Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa, ggwe alokola nʼomukono gwo ogwa ddyo abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
8Onkuume ngʼemmunye eyʼeriiso lyo; onkweke mu kisiikirize kyʼebiwaawaatiro byo.
9Omponye ababi abannumba, nʼabalabe bange abanneetoolodde.
9
10ⓛ Omutima gwabwe mukakanyavu, nʼakamwa kaabwe koogera byʼamalala.
11Banzingizza era banneetoolodde; bansimbye amaaso nga beeteeseteese okunsuula wansi.
12Bali ngʼempologoma enjala gyʼeruma eyeeteeseteese okutaagula omuyiggo gwayo era ngʼempologoma enkulu eteeze.
12
13Golokoka nʼekitala kyo, Ayi Mukama, oyolekere abalabe bange obawangule, omponye ababi abo.
14Ayi Mukama, mponya abantu, abantu abʼensi nʼomukono gwo, kubanga balowooleza mu bya bulamu buno byokka, nʼemigabo gyabwe giri mu nsi.
14Embuto zaabwe zigezze, obagaggawazizza ne baterekera nʼabaana baabwe ne bazzukulu baabwe.
15ⓜ Nze ndikulaba nʼamaaso mu butuukirivu era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.