1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo. Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.
2ⓝ Mukama lwe lwazi lwange, kyʼekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange, ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka; ye ngabo yange era ye mulokozi wange owʼamaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
3ⓞ Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa, era amponya eri abalabe bange.
3
4Emiguwa gyʼokufa gyanneetooloola; embuyaga ezʼokusaanawo zansaanikira.
5Ebisiba ebyʼamagombe byanneetooloola; nʼemitego gyʼokufa ne ginjolekera.
6Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; ne nkaabirira Katonda wange annyambe. Yawulira eddoboozi lyange ngʼali mu yeekaalu ye; omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.
6
7ⓟ Emisingi gyʼensi ne gikankana ne giyuuguuma; ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka, kubanga yali asunguwadde.
8Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze. Omuliro ne guva mu kamwa ke, ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
9Yayabuluza eggulu nʼakka wansi; ebire ebikutte nga biri wansi wʼebigere bye.
10Yeebagala kerubi nʼabuuka,[3] nʼaseeyeeyeza ku biwaawaatiro byʼempewo.
11Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira eyʼebire ebijjudde amazzi.
12Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye, nʼokumyansa kwʼeggulu nʼomuzira.
13ⓠ Mukama yabwatuka ngʼasinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera; mu kamwa ke ne muvaamu omuzira nʼokumyansa kwʼeggulu.
14Yalasa obusaale bwe nʼasaasaanya abalabe; nʼokumyansa okwʼeggulu nʼabawangula.
15Ebiwonvu ebyʼomu nnyanja ne bibikkulwa nʼemisingi gyʼensi ne gyeyerula olwʼokunenya kwo Ayi Mukama nʼolwʼokubwatuka kwʼomukka ogwʼomu nnyindo zo.
15
16Mukama yagolola omukono gwe ngʼali waggulu, nʼankwata nʼannyinyulula mu mazzi amangi.
17Yamponya abalabe bange abʼamaanyi, abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
18Bannumba nga ndi mu buzibu, naye Mukama nʼannyamba.
19Nʼantwala mu kifo ekigazi nʼamponya, kubanga yansanyukira nnyo.
20ⓡ Mukama ankoledde ngʼobutuukirivu bwange bwe buli, ansasudde ngʼebikolwa byange ebirungi bwe biri.
21Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama, ne sikola kibi eri Katonda wange.
22Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde, era ne siva ku biragiro bye.
23Sisobyanga mu maaso ge era nneekuuma obutayonoona.
24Noolwekyo, Mukama ansasudde ngʼobutuukirivu bwange bwe buli, era ngʼebikolwa byange ebirungi bwe biri byʼalaba.
24
25ⓢ Eri omwesigwa weeraga ngʼoli mwesigwa, nʼeri atalina musango weeraga nga tolina musango.
26Eri abalongoofu weeraga ngʼoli mulongoofu, nʼeri abakyamu weeraga ngʼobasinza amagezi.
27Owonya abawombeefu, naye abeegulumiza obakkakkanya.
28ⓣ Okoleezezza ettaala yange; Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
29Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange; nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.
29
30ⓤ Katonda byonna byʼakola bigolokofu; Mukama kyʼasuubiza akituukiriza; era bwe buddukiro bwʼabo bonna abamwekwekamu.
31ⓥ Kale, ani Katonda, wabula Mukama? Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?
32Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.
33ⓦ Ebigere byange abinyweza ngʼebyʼempeewo, nʼansobozesa okuyimirira ku ntikko zʼensozi.
34Anjigiriza okulwana entalo, ne nsobola nʼokuleega omutego ogwʼobusaale ogwʼekikomo.
35Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange; era ompaniridde nʼomukono gwo ogwa ddyo; weetoowazizza nʼongulumiza.
36ⓧ Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita, obukongovvule bwange ne butanuuka.
36
37Nagoba abalabe bange embiro, ne mbakwata ne sidda mabega okutuusa nga mbazikirizza.
38Nababetenta ne batasobola na kugolokoka, ne mbalinnyako ebigere byange.
39Ompadde amaanyi agʼokulwana; abalabe bange ne banvuunamira.
40Okyusizza abalabe bange ne bankuba amabega ne badduka, ne ndyoka nsanyaawo abo bonna abankyawa.
41ⓨ Baalaajana naye tewaali yabawonya; ne bakaabirira Mukama, naye nʼatabaddamu.
42Ne mbamerengula ngʼenfuufu empewo gyʼefuumuula; ne mbasammula eri ngʼebisooto byʼomu luguudo.
42
43ⓩ Omponyezza obulumbaganyi bwʼabantu; nʼonfuula omufuzi wʼamawanga. Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange.
44Olumpulira ne baŋŋondera, bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange.
45ⓐ Bannamawanga baggwaamu omutima ne bava mu bigo byabwe nga bakankana.
46Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange; era agulumizibwe Katonda wʼobulokozi bwange.
47Ye Katonda, asasula ku lwange abankola obubi era akakkanya amawanga ne ngafuga. Amponyeza abalabe bange.
48Ayi Mukama, ongulumizizza okusinga abalabe bange, nʼonkuuma abakambwe ne batankwatako.
49ⓑ Noolwekyo, Ayi Mukama, nnaakutenderezanga mu mawanga, era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
50Awa kabaka obuwanguzi obwʼamaanyi, amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta, eri Dawudi nʼeri ezzadde lye.