Zabbuli 19:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda, ebbanga ne litegeeza emirimu gyʼemikono gye.

2Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye, era liraga amagezi ge buli kiro.

3Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa, era nʼeddoboozi lyabyo teriwulikika.

4Naye obubaka bwabyo bubunye mu nsi yonna. Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.

5 Evaayo ngʼawasa omugole bwʼava mu nju ye, era ngʼomuddusi asinga bonna bwʼajjula essanyu ngʼagenda mu mpaka.

6Evaayo ku ludda olumu olwʼeggulu, ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo, era tewali kyekweka bbugumu lyayo.

7Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna, era kizzaamu amaanyi mu mwoyo. Etteeka lya Mukama lyesigika, ligeziwaza abatalina magezi.

8Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu, kusanyusa omutima gwʼoyo akugondera. Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso, bye galaba.

9Okutya Mukama kirungi, era kya mirembe gyonna. Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya, era bya butuukirivu ddala.

10Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu, okusingira ddala zaabu ennungi ennyo. Biwoomerera okusinga omubisi gwʼenjuki, okusukkirira omubisi gwʼenjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.

11Ebyo bye birabula omuddu wo, era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.

12Ani asobola okulaba ebyonoono bye? Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.

13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere, bireme kunfuga. Bwe ntyo mbeere ngʼataliiko kyakunenyezebwa nneme okuzza omusango omunene ogwʼekibi.

14Nsaba ebigambo byʼomu kamwa kange, nʼokulowooza okwʼomu mutima gwange, bisiimibwe mu maaso go, Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>