Zabbuli 2:1-12 LGCB2014 - Bible AI

1 Lwaki amawanga geegugunga nʼabantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?

2 Bakabaka abʼensi bakuŋŋaanye, nʼabafuzi ne bateeseza wamu ku Mukama ne ku Kristo we, nga bagamba nti,

3 “Ka tukutule enjegere zaabwe, era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”

4 Naye Katonda oyo atuula mu ggulu, abasekerera busekerezi, nʼenkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.

5Nʼalyoka abanenya ngʼajjudde obusungu, nʼabatiisa nnyo ngʼaswakidde.

6Nʼabagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”

7 Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama: Kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange, olwaleero nkuzadde.”

8“Nsaba, nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo, era nʼensi yonna gyʼekoma okuba amatwale go.”

9 “Olibafugisa omuggo ogwʼekyuma, era olibabetenta ngʼentamu yʼomubumbi.”

10Kale nno mubeere nʼamagezi mmwe bakabaka; muyige okulabulwa mmwe abafuzi bʼensi.

11Muweereze Mukama nga mumutya, era musanyuke nʼokukankana.

12 Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira nʼokubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe; kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu. Kyokka bonna abaddukira gyʼali balina omukisa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>