Zabbuli 20:1-9 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Mukama akwanukulenga ngʼoli mu buzibu. Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.

2Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu; akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.

3Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna zʼomuwa, era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.

4Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga, era atuukirizenga byʼoteekateeka byonna.

5Tulijaganya olwʼobuwanguzi bwo, ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe. Mukama akuwenga byonna byʼomusaba.

6Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta, amwanukula ngʼamuwa obuwanguzi nʼomukono gwe ogwa ddyo, ngʼasinziira mu ggulu lye ettukuvu.

7Abamu beesiga amagaali, nʼabalala beesiga embalaasi, naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.

8Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo, naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.

9Ayi Mukama, lokola kabaka, otwanukule bwe tukukoowoola.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>