Zabbuli 21:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go. Obuwanguzi bwʼomuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!

2 Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga, era buli kyʼasabye nʼakamwa ke tokimummye.

3Ddala ddala wamwaniriza nʼemikisa gyo egijjudde ebirungi, nʼomutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.

4Yakusaba obulamu, era nʼobumuwa, ennaku ennyingi ezʼemirembe nʼemirembe.

5Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene. Omuwadde ekitiibwa nʼoyatiikirira.

6Ddala omuwadde emikisa gyo egyʼolubeerera, nʼomujjuza essanyu ngʼoli naye buli kiseera.

7Kubanga kabaka yeesiga Mukama, era olwʼokwagala okutaggwaawo okwʼoyo Ali Waggulu Ennyo, kabaka tagenda kunyeenyezebwa.

8Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna; omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.

9Bwʼolirabika, Ayi Mukama, olibasiriiza nʼomuliro ngʼogwʼomu kyoto ekyengeredde. Mukama, ngʼajjudde obusungu, alibamira bonna, era alibamalirawo ddala.

10Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi, nʼabaana baabwe bonna nʼobamalawo mu baana bʼabantu.

11Newaakubadde nga bakusalira enkwe, ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.

12Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba ngʼobaleezeemu omutego gwo ogwʼobusaale.

13Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go. Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>