1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi ⓖ Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde? Lwaki ogaana okunnyamba wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
2Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula; nʼekiro bwe ntyo, naye siweerako.
3ⓗ Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe, era ettendo lya Isirayiri yonna.
4Bajjajjaffe baakwesiganga; baakwesiga naawe nʼobawonya.
5ⓘ Baakukoowoolanga nʼobalokola; era baakwesiganga ne batajulirira.
6ⓙ Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu; abantu bampisaamu amaaso, nʼabalala bannyooma.
7ⓚ Bonna abandaba banduulira, era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
8“Yeesiga Mukama; kale amuwonye. Obanga Mukama amwagala, kale nno amulokole!”
9Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange, era wampa okukwesiga ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
10ⓛ Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo; olwava mu lubuto lwa mmange nʼobeera Katonda wange.
11Tobeera wala nange, kubanga emitawaana ginsemberedde, ate nga tewali mulala nʼomu asobola kunnyamba.
12Zisseddume nnyingi zinneetoolodde, zisseddume enkambwe ezʼe Basani[4] zinzingizizza.
13ⓜ Banjasamiza akamwa kaabwe ngʼempologoma bwʼewuluguma ngʼetaagulataagula omuyiggo gwayo.
14ⓝ Ngiyiddwa ngʼamazzi, nʼamagumba gange gasowose mu nnyingo zaago. Omutima gwange guli ngʼobubaane, era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
15ⓞ Amaanyi gampweddemu, gakaze ngʼoluggyo; nʼolulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange. Ondese awo mu nfuufu ngʼomufu.
16ⓟ Abantu ababi banneetoolodde; banneebunguludde ngʼembwa ennyingi; banfumise ne bawummula ebibatu byange nʼebigere byange.
17ⓠ Amagumba gansowose nnyinza nʼokugabala. Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
18ⓡ Bagabana engoye zange; era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.
19Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange. Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
20Omponye okuttibwa nʼekitala; obulamu bwange obwʼomuwendo butaase mu maanyi gʼembwa!
21ⓢ Nzigya mu kamwa kʼempologoma, omponye amayembe gʼembogo enkambwe.
22ⓣ Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda; nnaakutenderezanga mu kibiina kyʼabantu.
23Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga. Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga; era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24ⓤ Kubanga tanyooma kwaziirana kwʼabo abali mu nnaku, era tabeekweka, wabula abaanukula bwe bamukoowoola.
25Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olwʼebyo byʼonkoledde. Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26Abaavu banaalyanga ne bakkuta, abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga. Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.
27Ensi zonna zirijjukira ne zikyukira Mukama, ebika byonna ebyʼamawanga gonna birimuvuunamira.
28ⓥ Kubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama, era yʼafuga amawanga gonna.
29Abagagga bonna abʼomu nsi balirya embaga, ne bamusinza. Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira, abatakyali balamu.
30Ezadde lyabwe lirimuweereza; abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.
31Nʼabo abatannazaalibwa balibuulirwa obutuukirivu bwe nti, “Ekyo yakikoze.”