1Zabbuli ya Dawudi ⓦ Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
2ⓧ Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro lyʼomuddo omuto. Antwala awali amazzi amateefu.
3Akomyawo emmeeme yange. Annuŋŋamya okukola ebyʼobutuukirivu olwʼerinnya lye.
4ⓨ Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu ekyʼekisiikirize ekyʼolumbe, siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo nʼomuggo gwo bye binsanyusa.
5Onsosootolera emmere abalabe bange nga balaba; onsiize amafuta ku mutwe,[5] ekikompe kyange kiyiwa.
6Ddala ddala obulungi nʼokwagala okutaggwaawo binaagendanga nange ennaku zonna ezʼobulamu bwange; nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama, ennaku zonna.