Zabbuli 24:1-10 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Dawudi Ensi ya Mukama nʼebigirimu byonna, nʼensi zonna nʼabo abazibeeramu.

2Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja, nʼagizimba ku mazzi amangi.

3Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya? Era wa ngeri ki aliyingira nʼayimirira mu nnyumba ye entukuvu?

4 Oyo alina omutima omulongoofu, nga nʼemikono gye mirongoofu; atasinza bakatonda abalala, era atalayirira bwereere.

5Oyo Mukama anaamuwanga omukisa, nʼobutuukirivu okuva eri Katonda owʼobulokozi bwe.

6Ogwo gwe mulembe gwʼabo abakunoonya, Ayi Katonda wa Yakobo.

7 Mweggulewo, mmwe bawankaaki! Muggulwewo, mmwe enzigi ezʼedda, Kabaka owʼekitiibwa ayingire.

8 Kabaka owʼekitiibwa ye ani? Ye Mukama owʼamaanyi era owʼobuyinza, omuwanguzi mu ntalo.

9Mweggulewo, mmwe bawankaaki, Muggulwewo mmwe enzigi ezʼedda! Kabaka owʼekitiibwa ayingire.

10Kabaka owʼekitiibwa oyo ye ani? Mukama Ayinzabyonna; oyo ye Kabaka owʼekitiibwa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>