1Zabbuli ya Dawudi Eri ggwe, Ayi Mukama, gye ndeeta okusaba kwange.
2Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso gʼabalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga, naye abʼenkwe baliswazibwa.
4ⓓ Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama, ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna; kubanga ggwe Katonda, owʼobulokozi bwange era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
6Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, nʼokwagala kwo okungi, kubanga byava dda.
7ⓔ Tojjukira bibi byange nʼobujeemu bwange ebyʼomu buvubuka bwange. Onzijukire, Ayi Mukama, ngʼokwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
8Mukama mulungi, era wa mazima, noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
9Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu nʼabayigiriza ekkubo lye.
10Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala nʼamazima eri abo abagondera endagaano ye nʼebiragiro bye.
11Olwʼerinnya lyo, Ayi Mukama, onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.
12Omuntu wa ngeri ki atya Katonda? Oyo gwʼanaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13ⓕ Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda, era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14ⓖ Mikwano gya Mukama be bo abamugondera; anaababikkuliranga ekyama ekyʼendagaano ye.
15Ntunuulira Mukama buli kiseera, kubanga yekka yʼanzigya mu kabi.
16Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa, kubanga nsigadde bwʼomu, era ndi munafu.
17Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange; mponya okweraliikirira kwange.
18ⓗ Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange; onzigyeko ebibi byange byonna.
19Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi nʼokunkyawa kwe bankyawamu!
20Labiriranga obulamu bwange, obamponye; tondekanga mu buswavu, kubanga ggwe kiddukiro kyange.
21Amazima nʼobulongoofu bindabirirenga, essubi lyange liri mu ggwe.
22Nunula Isirayiri, Ayi Katonda, omuwonye emitawaana gye gyonna.