Zabbuli 26:1-12 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Dawudi Onnejjeereze, Ayi Mukama, kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa; nneesiga ggwe, Ayi Mukama, nga sibuusabuusa.

2Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese; weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.

3 Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera, era mu mazima go mwe ntambulira.

4Situula na bantu balimba, so siteesaganya na bakuusa.

5Nkyawa ekibiina kyʼaboonoonyi; so situula na bakozi ba bibi.

6Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[6] ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;

7Ne nnyimba oluyimba olwʼokwebaza, olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.

8Ennyumba yo mwʼobeera njagala, Ayi Mukama, kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.

9Tombalira mu boonoonyi, wadde mu batemu,

10 Abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi, era abali bʼenguzi.

11Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa; nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.

12Nnyimiridde watereevu. Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina kyʼabantu ekinene.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>