1Zabbuli ya Dawudi ⓛ Mukama gwe musana gwange nʼobulokozi bwange; ani gwe nnaatyanga? Mukama ge maanyi agʼobulamu bwange; ani asobola okuntiisa?
2ⓜ Abalabe bange nʼabantu ababi bonna bwe banannumba nga baagala okunzita, baneesittala ne bagwa.
3Newaakubadde ngʼeggye linaasiisira okunneebungulula, omutima gwange teguutyenga; olutalo ne bwe lunansitukirangako, nnaabanga mugumu.
4ⓝ Ekintu kimu kye nsaba Mukama, era ekyo kye nnoonya: okubeeranga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ezʼobulamu bwange, ne ndabanga obulungi bwa Mukama, era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
5Kubanga mu biseera ebyʼobuzibu anansuzanga mu nju ye; anankwekanga mu weema ye, nʼankuumira ku lwazi olugulumivu;
6Olwo ononnyimusanga waggulu wʼabalabe bange abanneetoolodde. Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza nʼeddoboozi eryʼomwanguka olwʼessanyu; nnaayimbiranga Mukama ennyimba ezʼokumutenderezanga.
7Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola; onkwatirwe ekisa onnyanukule!
8Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.” Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
9Tonneekweka, so tonyiigira muweereza wo, kubanga ggwʼobadde omubeezi wange bulijjo. Tonneggyaako, so tonsuula, Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10ⓞ Kitange ne mmange bwe balindeka, Mukama anandabiriranga.
11Njigiriza, Ayi Mukama, byʼoyagala nkole, era onkulembere mu kkubo lyo, kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12ⓟ Tompaayo mu balabe bange, kubanga abajulizi abʼobulimba bansitukiddeko nʼenkwe zaabwe, okunkambuwalira.
13ⓠ Nkyakakasiza ddala nga ndiraba obulungi bwa Mukama mu nsi eyʼabalamu.
14ⓡ Lindirira Mukama. Ddamu amaanyi, ogume omwoyo. Weewaawo, lindirira Mukama.