Zabbuli 28:1-9 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Dawudi Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange, tolema kumpuliriza; kubanga bwʼonoonsiriikirira nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.

2Owulire eddoboozi eryʼokwegayirira kwange, nga mpanise emikono gyange okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu, nga nkukaabirira okunnyamba.

3Tontwalira mu boonoonyi, abakola ebibi; abanyumya obulungi ne bannaabwe, so ngʼemitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.

4Basasule ngʼebikolwa byabwe bwe biri, nʼolwʼebyambyone bye bakoze. Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza, obabonereze nga bwe basaanidde.

5Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama, oba ku ebyo bye yakola nʼemikono gye, alibazikiririza ddala, era talibaddiramu.

6Atenderezebwe Mukama, kubanga awulidde eddoboozi lyʼokwegayirira kwange.

7Mukama ge maanyi gange, era ye ngabo yange, ye gwe neesiga. Bwe ntyo ne nyambibwa. Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ezʼokumwebazanga.

8Mukama yʼawa abantu be amaanyi, era kye kiddukiro ekyʼobulokozi bwʼoyo gwe yafukako amafuta.

9Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo. Obakulemberenga ngʼomusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>