Zabbuli 29:1-11 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Dawudi Mutendereze Mukama, mmwe abaana bʼabʼamaanyi. Mutendereze Mukama nʼekitiibwa nʼamaanyi.

2Mutendereze Mukama nʼekitiibwa ekisaanira erinnya lye; musinze Mukama mu kitiibwa ekyʼobutukuvu bwe.

3Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi; Katonda owʼekitiibwa abwatuka, nʼeddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.

4Eddoboozi lya Mukama lyʼamaanyi; eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.

5Eddoboozi lya Mukama limenya emivule; Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.

6Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ngʼakayana, ne Siriyoni[7] ngʼennyana yʼembogo.

7Eddoboozi lya Mukama libwatukira mu kumyansa.

8Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu; Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.

9Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule, nʼemiti mu bibira ne gitasigalako makoola. Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”

10 Mukama atuula waggulu wʼamataba ku ntebe ye eyʼobwakabaka. Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.

11Mukama awa abantu be amaanyi; Mukama awa abantu be emirembe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>