Zabbuli 3:1-8 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu. Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi! Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!

2Bangi abanjogerako nti, “Katonda tagenda kumununula.”

3Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma; ggwe kitiibwa kyange, era gwʼonzizaamu amaanyi.

4Nkoowoola Mukama nʼeddoboozi eryʼomwanguka, nʼannyanukula ngʼasinziira ku lusozi lwe olutukuvu.

5 Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi, kubanga Mukama ye ampanirira.

6Siityenga enkumi nʼenkumi zʼabalabe bange abanneetoolodde, okunnumba.

7 Golokoka, Ayi Mukama, ondokole Ayi Katonda wange okube abalabe bange bonna omenye oluba lwʼabakola ebibi.

8 Obulokozi buva gyʼoli, Ayi Mukama. Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.