Zabbuli 30:1-12 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli nʼOluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama, kubanga wannyimusa; nʼotoganya balabe bange kunneeyagalirako.

2Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe, nʼomponya.

3Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe, nʼomponya ekinnya.

4Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be; mutendereze erinnya lye ettukuvu.

5Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera, naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna. Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka essanyu ne lijja nga bukedde.

6Bwe namala okunywera ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”

7Ayi Mukama, bwe wanjagala, wanyweza olusozi lwange; naye bwe wankweka amaaso go ne neeraliikirira.

8Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama; ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.

9“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya ne nzikirira? Enfuufu eneekutenderezanga nʼetegeeza abantu obwesigwa bwo?

10Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire; Ayi Mukama, onnyambe.”

11 Ofudde okwaziirana kwange amazina; onnyambuddemu ebibukutu, nʼonnyambaza essanyu;

12Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ezʼokukutenderezanga. Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>