Zabbuli 31:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange, leka nneme kuswazibwa. Ndokola mu butuukirivu bwo.

2Ontegere okutu kwo oyanguwe okunziruukirira. Beera ekiddukiro kyange ekyʼolwazi era ekigo ekyʼamaanyi ekyʼokumponya.

3Nga bwʼoli olwazi lwange era ekigo kyange; olwʼerinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.

4Omponye mu mutego gwe banteze; kubanga ggwe kiddukiro kyange.

5 Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo; ondokole, Ayi Mukama, Katonda owʼamazima.

6 Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala; nze nneesiga Mukama.

7 Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo, kubanga olabye okubonaabona kwange era omanyi ennaku endi ku mwoyo.

8 Tompaddeeyo mu balabe bange, naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.

9Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi; amaaso gange gakooye olwʼennaku; omwoyo gwange nʼomubiri gwange nabyo binafuye olwʼobuyinike.

10Obulamu bwange buweddewo olwʼobunaku nʼemyaka gyange ne giggwaawo olwʼokusinda. Amaanyi gampweddemu olwʼokwonoona kwange, nʼamagumba ganafuye.

11 Abalabe bange bonna bansekerera, banneetamiddwa. Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange, nʼabandaba mu kkubo banziruka.

12Nneerabiddwa ngʼeyafa edda; nfuuse ngʼekibumbe ekyatifu.

13 Buli ludda mpulirayo obwama nga bangeya; bye banteesaako nga basala olukwe okunzita.

14Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama; nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”

15 Entuuko zange ziri mu mikono gyo; ondokole mu mikono gyʼabalabe bange nʼabangigganya.

16Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo; ondokole nʼokwagala kwo okutaggwaawo.

17Ayi Mukama tondeka kuswazibwa, kubanga nkukoowoola; leka abo ababi baswale, era bagalamire emagombe nga basirise.

18Akamwa kaabwe akayogera ebyʼobulimba kasirisibwe, kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo, nga babyogeza amalala nʼokunyooma.

19 Obulungi bwo, bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu, nʼobuwa mu lwatu abo abaddukira gyʼoli.

20 Obalabirira nʼobawonya enkwe zʼabalabe baabwe, nʼobakuuma bulungi mu nnyumba yo, nʼennyombo zʼabantu ne zitabatuukako.

21Mukama atenderezebwenga kubanga yandaga okwagala kwe okungi, bwe nnali mu kibuga kye baali bazingizza.

22Bwe natya ennyo ne njogera nti, “Ngobeddwa mu maaso go.” Kyokka wampulira nga nkukaabirira nʼonsaasira.

23Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna! Mukama akuuma abo abamwesiga, naye abʼamalala ababonereza mu bujjuvu.

24Muddeemu amaanyi mugume omwoyo mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>